Рет қаралды 14,347
Waliwo abakulembeze b’abavubuka mu district ye Luwero abakubye ebituli mu ngeri sentebe w’ekibiina kyabwe Yoweri Museveni gyawenjamu akalulu.
Bano bagamba nti kyaliko okwepena okusisinkana abantu kyandimumalako abawagizi era nabo bamuwadde essaawa 72 zokka ng’amaze okubasisinkana oba sikyo bakwabulira ekibiina kino batandike akalulu kukawenjeza munne owa NUP Robert Kyagulanyi.
Omuwabuzi w’omukulembeze we ggwanga Al Hajji Abdul Nadduli naye agamba nti engeri mukama we gyawenjamu akalulu yetaaga kukyusa kubanga akyali mu kusaaga.
#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda