Рет қаралды 764
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow'okubiri asiimye n'ayogerako eri obuganda okuyita mu katambi ka Video, omulundi ogusookedde ddala bukya atwalibwa ebunaayira okujjanjabwa mu mwezi gwokusatu.
Mukatambi kano akamaze eddakiika ebiri Ssaabasajja akkaatirizza nga bwali e Namibia olwokuwabulwa kwabasawo, nti era embeeraaye egenda etereera nga asuubira okudda kubutaka mu bbanda ttono.
Omutanda era asiimye katikkiro nebaminista be olwokusigala nga batambuza bulungi emirimu wakati mukusoomoozebwa, era nasaba obuganda okukuuma n'okusigaza obumu.