Otyo, ffe Mukama yatuwa. Nze eno gyendi emitala w'amayanja ntambudde munsi eziwerako, kyokka buli emu gyendabye erina bingi ffe bye tulina e Buganda bye batalina mu butonde bw'ensi. Ffe tusinza enkuba, obugimu bw'ettaka, awatali ddungu ate nga Obuganda butebenkevu n'okumanya obugagga mwe busibuka. Ensi gy'efa yenkana obugagga ne bw'oligendawa busibuka mu ttaka. Kyova olaba nga mu Buganda obwannannyini bw'ettaka kwetulemedde. Abo bannamawanga ne bwebanaakolaki tetugenda kuva ku mulamwa. Awatali bwannanyini, oli tasobola kukolerako kimugasa nga okusimba omusiri gw'emmwanyi ogwo oguweza yiika 25 ogw'e Kikerege mu ssaza lya Ssaabasajja ery'e Bulemeezi. Nyabo Mukyala Nampiima, Mwami Ggingo ne Mwami Ssemakula mwebale kututangaaza ku kirime kyaffe eky'emmwanyi, ekiyimirizzawo Obuganda emyaka n'emyaka. Kati wempandiikira bino nga Buganda yakungula n'okusuubula emmwanyi eziwedde ensawo kumpi 3,000,000 mu makungula ag'omwaka ogwayita (2020-2021). Z'ensawo ezisukka mu bitundi 56 ku buli 100 ez'ensawo z'emmwanyi eggwanga Uganda awamu ze lyatunda emitala w'amayanja. Zonna awamu twatunda ensawo eza latiri 120 oba Kilo 60 buli emu eziwera 6,000,000, ekitabangawo mu byafaawo. Okumanya "emmwanyi terimba," mu zonna awamu twafuna eza Amerika $559,000,000. Kati Uganda ekwata ekifo kyakubiri mu kulima emmwanyi n'okuzisuubula mu Afrika yonna, kyokka nga Ethiopia yatusingako ensawo 1,000,000 zokka mu makungula ago. Mu myaka nga ettaano gye bujja tunaaba tukungula n'okusuubula emmwanyi ezisukka ku za Ethiopia. Kale nno, bw'ogeraageranya emmwanyi z'Obwakabaka bwa Buganda ze tulima n'okukungula buli mwaka, ne bannaffe mu mawanga gali agasigaddewo mu bugwanjuba , ebuvanjuba na gali agatandise okutukoppa agomubukiikakkono bwa Uganda, okiraba nti awatali Buganda eggwanga lyonna teryandisobodde kukungula na kusuubula mmwanyi ezenkanidde awo obungi mu Afrika yonna awamu omwaka ogwayita. Kyenva ng'amba nti mu mu bbanga ttono ddala gye bujja, Buganda yakubanywamu akendo. Olwo nga ffe tusinga okulima n'okusuubula emmwanyi mu Afrika yonna awamu. Kati Uganda yonna awamu etwala ekifo kya munaana munsi yonna. Kyokka mu bbanga ttonno nnyo tunaaba tuli eyo kumpi mu kifo kya kutaano oba kya mukaaga. Abalowooza nti nno emmwanyi eneediba nga Uganda etandise okusima n'okusuubula amafuta g'omuttaka agava e Bunyoro beerimba. Amafuta ago ga kiseera buseera. Kasita gakalira, oli bwatatereka ku mudidi gw'ensimbi eziva mugo ku katale k'ensi yonna asigala ngalo nsa. So nga emmwanyi bukyanga tuzirima n'okuzisuubula emyaka gisoba mu 100, ate nga tweyongera bweyongezi okuzirima n'okuzikungula. Munsi ezinnyogoga ennyo, nga eno gye tuli emitala w'amayanja, buli omu n'ekikopo kya kaawa, basobole okwang'anga obutiti obwa buli mwaka emirembe n'emirembe. Abamu kuffe ze zaatusobozesa okutuweerera mu ga ssettendekero emitala w'amayanja, bazadde baffe kye batandisobodde kukola, newankubadde baalina emirimu mu gavumenti gye baasoma egyabasasulanga obulungi. Nga nno nkulabira obugagga obuli mu kulima n'okusuubula emmwanyi. Bannaffe mbebaza olw'okujjumbira ekirime kyaffe eky'emmwanyi awamu n'okumanya omugaso oguli mu bwannannyini bw'ettaka lya Buganda. Temuwuliriza ng'ambo era temuvanga ku mulamwa ne bwekiribaki. Anti "Adding'ana amawolu; yagaggyako omukkuto." Awangaale.
@paulntalo1425 Жыл бұрын
Thank madam Nampiima Lubwama. You ask great questions...
@paulinanambi7638 Жыл бұрын
Thanks Jossy for the great work. Am impressed
@marynansumba19938 ай бұрын
More blessings my beloved ones ❤❤❤❤
@jjunju7322 Жыл бұрын
Mrs mpima nkulamuzisa mkn webare omulimo.gwe mwanyi telimba mukama ayongere okukikubarira bambi for good presentation
@Kyagulanyieriton7 ай бұрын
Am Bruno 👍👍
@dennismawanda9121 Жыл бұрын
1acre season nfunamu meka sente nga noze emwanyi
@kibirangofahad5017 Жыл бұрын
Kisinzira ku ndabilira
@eng.mwebazedenis Жыл бұрын
Thanks 👍
@alexkakooza3116 Жыл бұрын
Mwebale tuwereza banaffe
@henrymwes7151 Жыл бұрын
Webale kulima sebo. Spacing nfu 6x6 emwanyi egenda kibila ate emwanyi bweziyira tebala. Kati olwo kitegeeza ogenda kulekako amatabi 3 buli kikolo okwewala okuziyira. 6x6 kumwanyi ate ogatemu ebitooke olimba sebo. Emwanyi erina okweweta kati ogenda kwesanga nga emwanyi tewali wezewetera olwo ziziyire obulwe newoyita nga otambula mumusiri gwo. Ezo zozizamu ojja kuzitema katukulinde.
@obedorora6789 Жыл бұрын
Hi guys how what's the name of the coffee breed am seeing in this video.I am a Kenyan and I want to plant that type.I Ned your urgent response pls.
@natashaalicek6634 Жыл бұрын
Webale nyo Ssebo
@ssenindemuhammed1082 Жыл бұрын
Mweebale nyo pragam ngazino kuba tufunamu kinene dala
@kirangwaronald7441 Жыл бұрын
Ebijimusa ebizungu byebireeta ekirwadde mu birime, temubuzaabuzibwa