Рет қаралды 43,919
Omuyimbi Evelyn Lagu amaze akaseera nga mulwadde, eky'ennaku nti ate y'alina okwerabirira n'okwejjanjaba. Olw'okuba yeetaaga ensimbi nnyingi ez'obujjanjabi nga n'abantu abazze bamudduukirira batuuka ne bakoowa ne babivaako, kati eby'obulwadde atuuka n'abisiba ku mpagi n'anoonya ssente. Bwe yawulidde ekivvulu kya David Luty ekya Kabisi ka ndagala n'amanya nti waliyo omukisa gw'okufuna akasente. Ono y'abadde mu ddwaliro ng'ali na ku ccupa, eby'obulwadde yabisibye ku mpagi n'asalawo assume mu ddwaliro. Abadigize olwamulabyeko ennaku n'ebakwata ne batandika okumufuuwa akasente wadde ng'okusinga byabadde binusu na bwa lukumi, ono yagenze alina ku kaseko ku matama.
@kyaggwetv1
Like, Share, Comment and Subscribe to Kyaggwe TV on both FaceBook and KZbin for daily updates.