Рет қаралды 20,114
Okusinziira ku by’afaayo ebizze biwandiikwa wamu n’okutunyumizibwa, abaminsani b’enzikiriza y’ekikatuliki abasookera ddala mu Uganda baagobera mu kifo ekimanyiddwa nga Kigungu,Entebbe.
Kyokka eby’afaayo bino byandikyuka, oluvannyuma lwa bwino omupya okuzuuka nga akakasa nti mu Uganda abaminsani basookera ku bizinga e Ssese ne balyoka batuuka mu Kampala.
Abakatuliki ku bizinga bino bagamba nti baaludde nga bayayaanira abakola ku by’afaayo kino bakikyuse wabula nga bafuyiira ndiga mulele.
Omusasi waffe yabaddeyo okuzuula oba nga ddala eriyo obujulizi bwonna obwoleka nti Farther Loudel Mapeera ne Brother Amans baali balinyeeko e Ssese.
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda