Рет қаралды 2,116
Namugereka Katonda Omukuumi Wange - Catholic Church Songs
(Lyrics)
R. Namugereka Katonda Omukumi wange,
Ggwe buggaga bwenterese;
Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange. Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange; Mukama essubi ly'abanoonya,
Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy'obeera..
1. Jjinja ery'omuwendo erinnonyezebwa wonna
Ye ggwe ayi Mukama.
Akusanga aba yeesimye ggwe anti
Entabiro y'ebirungi byonna;
Ssegomba bitiibwa bya nsi enno,
Buggaga na masanyu gabyo,
Bayita kkuutwe; ayi Mukama w'oli biba kantu ki?
R. Namugereka Katonda Omukumi wange, Ggwe buggaga bwenterese;
Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange. Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange;
Mukama essubi ly'abanoonya, Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy'obeera.
2. Ku bakwemaliza ggwe ssanyu ye ggwe dembe, Ggwe maanyi ga balwanyi
Abakuwereza olibaweera, ggwe Ow'obwenkanya omuzirakisa
Abakwesiga tebaliswaala.
R. Namugereka Katonda Omukumi wange, Ggwe buggaga bwenterese;
Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange. Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange;
Mukama essubi ly'abanoonya, Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy'obeera.
3. Abakweyuna abo beesimye balimatira,
Balijuka ki?
Balibulwa ki ate abakusenga nga ggwe olina byonna? Ggwe nnyini byonna, ggwe ntabiro, Ensulo y'ebirungi eby'olubeerera.
R.Namugereka Katonda Omukumi wange,
Ggwe buggaga bwenterese;
Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange. Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange; Mukama essubi ly'abanoonya,
Nnyweza nkuweereze, nkutuke qy'obeera.