Рет қаралды 14,885
ntvuganda.co.ug/
Gyebuvuddeko twabanyumiza ng'abasawo abakugu mu by'endya bwebaakubiriza abantu okulya enyama y'ebyenyanja, oluvanyuma lw'okukizuula nti endala ssi nnungi, eri obulamu. Abantu bangi bagamba nti bandyegombye okulya ebyenyanja bino naye bitono ku katale ate n'ebiriyo bigula buwanana. Osobola okuba omu kw'abo abayinza okwongera ku bungi bw'ebyenyanja bino ng'obirunda. Nga tonne ebuuza birundibwa bitya, sooka olabe Getrude Namisango ne banne abalala bana bwebakolamu omulimu guno mu mboozi eya Lima, Lunda, Gaggawala.