Рет қаралды 63,389
Mu buwangwa bw’abaddugavu, omufu ssi munno. Era omufu aweebwa ekitiibwa. Ssemateeka naye agaana okutataaganya eddembe ly'abafu . Wabula ensangi zino, olw’ebbula ly’ettaka n'abantu gyebakomye okwagala okwekulaakulanya kifuuse kyabulijjo okusengula abafu okubajja ku kijja ekimu, okubatwala kukirala. Okusengula abafu kati gwafuuka mulimu. Tukuleetedde Jacob Kiiza amanyikiddwa mu kusengula abafu. Ono, eyeyita Kalipiro Man, agamba nti teri mufu amulema kusengula.Wabula tubalabula nti owe mmeeme embi asobola okuvayo kubanga ebifaananyi bisobola okukutabula. #NTVNews #Akawungeezi
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda