Рет қаралды 66,463
Kkooti e Mpigi esazeewo eggoye ku nkaayaana ezibaddewo wakati w’ekitongole ky’ebyenguudo ki UNRA n’abamu ku bantu mu kika ky’olugave.
Entabwe eva ku Muti gw’ebyobuwangwa ogusamirirwako ab’ekika kino UNRA gw’eyagala okutemawo eyiseewo oluguudo lwa Busega-Mpigi Express Highway.
Bannanyini Muti babadde baagala obukadde 500 so nga yo UNRA bweyabaliriramu yalaba ng’ekifo omuti guno kwegutudde kirimu obukadde 4 mu emitwalo nkaaga.
Bano babadde baddukira mu kkooti nga baagala esalewo UNRA ebongeze ku nsimbi.
#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda