Рет қаралды 77,586
ntvuganda.co.ug/
Omuwala Shamsa Nanyonga eyasibye omutima olunaku lwa jjo nayita ku bakuumi ba Pulezidenti Museveni, asobole okumusisinkana, agamba yabadde yetamiddwa oluvanyuma lw;okuwandiika ebbaluwa eziwera ng'asaba obuyambi, naye nga tafuna kuddibwamu.
Omuwala ono nga ava mu disitulikiti y'e Kayunga agamba nti Kitaawe y'omu ku abo abawagira ennyo olutalo lw'ekiyeekera mu gy'ekinaana n'okuttibwa nattiibwa, ebintu byabwe nebikozesebwa naye nga tebayambiddwa n'okutuusa kati.