Рет қаралды 3,052
DONT FORGET TO SUBSCRIBE
(LYRICS)
Wansi w’omusalaba We nyimirira nze, Guli ng(a) ekisikirize Ky’olwazi mu ddungu; Era guli nga (e)kisulo Mu lukool(a) olubi, Abatambuz(e) abanaku We bawummulira.
We guli we mpummuza Omugugu gwange, Omusana nga gwaka nnyo, Newogoma mu gwo; Bwe ngufumitiriza ko, Ndowooza nnyo Yesu Eyafa ku musalaba, Mmufukaamirira.
Yesu, Omusana Omulala, saagala, Amaaso go galabika Gyendi nga enjuba; Amadaala agagenda Mu guulu ge gano: Omusalaba gwo, Yesu, Era gwe gwange nze
(E)byekitalo bibiri, Bye njatula leero: (E)bibi byange (e)bingi naye (O)kwagala kwo kungi; (O)musalaba gunsanyusa Okusinga byonna, Ensi leka empiteko, Ndaby(e) ekitiibwa kyo!