Рет қаралды 17,517
Ssaabiiti gyetwakakuba emabega, waliwo basajja bakulu abaagwa ku kyokya, olukiiko lw'eggwanga olukulu bwelwagaana okubakkiriza okulya ebifo by'obwa minisita. Ekyo nno kiba kinyiizo bwoba omaze ebbanga ng'oswamye okugwa mu kkubo erikutuusa mu kintu kyennyini. Abalala eby'okuyingira mu kintu ssi byebabaddeko, okuggyako okuyiiya obulamu mu bivvulu ebyakazibwako erya karaoke poliisi gyeyabaggya n'ebateekako omusango gw'okunywa n'okusuubula enjaaye.