Рет қаралды 8,370
Poliisi eremesezza abakulembeze n’abawagizi ba FDC 14 ab’e Kiwayi ky’e Katonga okutuuka ku kitebe ky’eggwanga lya Kenya okutwalayo ekiwandiiko ekivumirira engeri bannaabwe 36 gyebaakwatibwamu mu ggwanga eryo nebakomezebwawo kuno nebaggulwako emisango gy’obutujju.
Bano poliisi ebakutte baakayisa amasanganzira g’ebitaala bya fairway era mukanyoolagano kano bannamawulire nabo baasikaasikanyiziddwa nga poliisi egezaako okubakugira okukwata ebibadde bigenda maaso era waliwo ne Camera y’omu ku bbo eyonooneddwa.
Banna FDC bano baagala Kenya eveeyo ebaanukule ku by’okukwatibwa kwa banaabwe awatali ekyo ensonga baakuzongerayo mu kkooti ya East Africa ne mukibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations. #NTVNews #Akawungeezi
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda