Рет қаралды 2,613
KKOOTI enkulu e Kampala eragidde ababaka ba palamenti bayite mu mitendera buli omu ku bbo eyakwata ku sillingi obukadde 20 azizeeyo.
Ekisooka, omubaka asobola okukwata ssente zino na zizzaayo eri akakiiko ka Palamenti akaazibawa.
Eky’okubiri, omubaka asobola okuziwaayo eri akakiiko akali ku mulimu gw’okutangira COVID-19 -oba eky’okusatu, omubaka ssente zino asobola okuziwa akakiiko ka district gy’ava akali ku mirimu gya COVID-19.
Ababaka Gerald Karuhanga owa munisipaali ye Ntungamo ne Jonathan Odur baatwala okwemulugunya mu kkooti ku Palamenti bwe bakiika nga bawakanya babaka bannaabwe okuyisa obuwumbi bwa sillingi 10 olwo nebateematema buli nakwatako amakumi abiri - era kkooti nekkaanya nabo nti ddala Palamenti yamenya amteeka ku kino
#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda