Рет қаралды 3,222
Abawala abatanetuuka abafuna embuto kukyali kusomooza kunene eri eggwanga ate bwekituuse mu kiseera ky’omuggalo n’egujjabagira.
Mu district ye Luwero abawala abali wansi w’emyaka 19 abafuna embuto abali mu bitabo by’amalwaliro ag’enjawulo gyebagenda okunywa eddagala mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde 2020/2021 bali eyo mu 16,000 eky’enyamizza abakulembeze.
Mukyala w’akulira ekibiina kya NUP Barbra Itungo Kyagulanyi aliko abawala abali mu mbeera eno basisinkanye e luwero era n’abaako byabawa okubayamba mu kuzaala n’eddwaliro ly’e Luwero naliwa ebitanda ebizalirwako mukaaga n’ebintu ebirala.
#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda